dnny 7
gnny 4 nny 12, 13, 21
inny 21
knny 26, 39
lnny 19, 38; Yon 1:5
m nny 10 nny 7
nnny 25, 36
pBik 23:11 nny 44
qnny 22, 36 Bar 4:20, 21
rnny 17, 39 Bik 28:1
snny 16
tnny 24
wnny 22, 25
xnny 18; Yon 1:5
znny 29
abnny 3
acnny 22, 31

Acts 27

Pawulo Agenda e Ruumi

1 aAwo bwe kyasalibwawo tusaabale ku nnyanja tugende mu Italiya, Pawulo n’abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, erinnya lye Yuliyo, eyali ow’omu kibinja kya Kayisaali Agusito. 2 bEkyombo eky’e Adulamutiyo ekyali kinaatera okuseeyeya ku lubalama lwa Asiya; ne tusitula nga ne Alisutaluuko Omumakedoni ow’e Sessaloniika ali naffe.

3 cKu lunaku olwaddirira ne tugoba ku mwalo gw’e Sidoni, Yuliyo n’akolera Pawulo eky’ekisa n’amukkiriza n’agenda ku lukalu eri mikwano gye ne bamusembeza. 4 dBwe twasitula, empewo n’etufuluma mu maaso, ne tusaabala ne tuyita ku mabbali ga Kupulo. 5 eBwe twamala okuva mu nnyanja wakati ne tuyita ku lubalama lwa Kirukiya ne Panfuliya, ne tugoba ku mwalo Mula ogw’e Lukiya. 6 fEyo omukulu w’ekitongole n’alabawo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kiraga mu Italiya, n’atusaabaza omwo. 7 gTwamala ennaku nnyingi ng’ennyanja yeefuukudde, nga tugenda mpola, ne tusemberera olubalama lw’e Kunido mu buzibu bungi naye ne tuteeyongerayo mu maaso ng’omuyaga gutuyitiridde, ne tusala ne tugenda ku luuyi olumu olwa Kuleete nga tuva ku mwalo gwa Salumone. 8Ne tusaabala mu buzibu bungi ne tuyita ku lubalama okumpi n’ekifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi ekiriraanye ekibuga Laseya.

Okulabula kwa Pawulo Kulagajjalirwa

9 hBwe waayitawo ebbanga ddene, n’obudde nga butandise okwonoonekera ddala, era nga kyakabi okwolekera olugendo, ate era nga n’ekisiibo kyayita dda, Pawulo n’abawa amagezi, 10 ing’agamba nti, “Bassebo, ndaba nti olugendo lujja kubeeramu emitawaana n’okufiirwa kungi, si kwa bintu byokka n’ekyombo, naye n’obulamu bwaffe.” 11Naye omukulu w’ekitongole n’awalirizibwa okugondera amagezi g’omugoba w’ekyombo ne nannyini kyo okusinga Pawulo bye yayogera. 12Olw’okubanga omwalo tegwali mulungi okwewogomamu mu kiseera ky’obutiti, abasinga obungi kyebaava basemba eky’okweyongerayo, nga basuubira nti obanga kisoboka tutuuke e Foyiniiki, we baba bamala ekiseera eky’obutiti ku mwalo gwa Kuleete ogwali gutunuulidde obukiikaddyo n’ebugwanjuba, n’obukiikakkono n’ebugwanjuba.

Omuyaga

13Mu kiseera ekyo empewo n’efuluma mu bukiikaddyo nga nzikakkamu, ne balowooza nti kye baali bagenderera bakifunye ne basikayo ennanga ne bagendera kumpi n’olukalu lwa Kuleete. 14 jNaye waali tewannayita bbanga ddene, omuyaga ogw’amaanyi ennyo oguyitibwa Ewulakulo, ne gukunta n’amaanyi mangi nnyo. 15Ne gufuuwa ekyombo ne kiva mu kkubo lyakyo, ne kitayinza kwolekera muyaga, ne tuguleka ne gututwala nga bwe gwayagala. 16Oluvannyuma ne tuyita ku mabbali g’akazinga akayitibwa Kawuda, mu kutegana, 17 kne tukwata akaato akeeyambisibwa mu kabenje, ne bakasibira okwo n’emiguwa okwetooloola ekyombo, ne bakanyweza. Olw’okutya nti ekyombo kiyinza okuwagamira mu musenyu gwa Suluti, kyebaava bassa ettanga eddene ne baleka ekyombo ne kitwalibwa omuyaga. 18 lOlunaku olwaddirira omuyaga ne gweyongera amaanyi, abalunnyanja ne batandika okusuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo. 19Ne ku lunaku olwokusatu ne bakwata ebintu ebikola ku kyombo ne babisuula mu nnyanja. 20Ne tumala ennaku nnyingi nga tetulabye ku njuba wadde emunyeenye, gwo omuyaga nga gutuzunza n’amaanyi gaagwo gonna; olwo essuubi lyaffe lyonna ery’okuwona ne lituggweeramu ddala.

Obuvumu bwa Pawulo n’okukkiriza kwe

21 mBwe baamala ebbanga nga n’okulya tebaagala kulya, Pawulo n’alyoka ayimirira wakati mu bo, n’abagamba nti, “Abasajja kyabagwanira okumpuliriza obutava Kuleete, kubanga temwandifiiriddwa byammwe bwe muti awamu n’okulumizibwa! 22 nNaye kaakano mugume omwoyo! Kubanga tewali n’omu ajja kufa, wabula ekyombo kyokka kye kijja okuzikirira. 23 oKubanga ekiro ekyayise, malayika wa Katonda wange gwe mpeereza, yayimiridde we ndi, 24 pn’aŋŋamba nti, ‘Totya, Pawulo, kubanga kikugwanira okuyimirira mu maaso ga Kayisaali owozesebwe, era laba, Katonda akuwadde obuvunaanyizibwa ku abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’ 25 qNoolwekyo mugume omwoyo! Kubanga nzikiriza Katonda nga mu ngeri yonna kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa. 26 rNaye kitugwanidde okusuulibwa ku kizinga.”

Ekyombo Kisaanawo

27Mu kiro eky’ekkumi n’ebina embuyaga bwe yali etuwuuba eno n’eri mu Nnyanja Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti olukalu luli kumpi. 28Ne bapima ne balaba ng’obuwanvu bw’amazzi okukka wansi buli mita amakumi asatu mu musanvu. Bwe waayitawo akabanga ate ne bapima ne basanga nga mita amakumi abiri mu musanvu. 29Bwe baatya okutomera enjazi ku lubalama ne basuula ennanga nnya emabega, ne basabirira obudde okukya. 30 sAbamu ku balunnyanja ne bateesa okwabulira ekyombo ne bassa akaato akeyambisibwa mu kabenje, nga beefuula ng’abagenda okusuula ennanga mu maaso g’ekyombo. 31 tNaye Pawulo n’agamba omukulu w’ekitongole n’abaserikale be nti, “Mwenna temujja kuwona okuggyako ng’abasajja bano basigala ku kyombo.” 32Awo abaserikale ne basala emiguwa egyali gikutte akato, ne bakaleka ne kagwayo.

33Awo obudde bwali bunaatera okukya, Pawulo ne yeegayirira buli muntu alye ku mmere, ng’abagamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya nga mulindirira nga temulidde, ate era mukyeyongera obutalya. 34 uNoolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe n’omu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.” 35 vAwo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’addira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, n’amenya omugaati n’alya. 36 wAmangwago buli omu n’atandika okulya ku mmere. 37Abaali ku kyombo bonna awamu baali ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. 38 xBonna bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo.

39 yAwo obudde bwe bwakya ne batalaba lukalu naye ne balengera ekikono ky’ennyanja nga kirina ekibangirizi eky’omusenyu ku lubalama, ne baagala bagobye okwo ekyombo. 40 zNe bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, ne basumulula emiguwa egikwata enkasi ne bawanika ettanga ery’omu maaso g’ekyombo empewo eryoke ekitwale mu maaso, ne balyoka boolekera olukalu. 41 aaNaye ekyombo ne kyeggunda mu musenyu engezi ebbiri we zaali zisisinkana, ekitundu eky’omu maaso ne kiwagamira mu musenyu nga tekinyeenya, eky’emabega ne kisigala wabweru waggulu, ng’amayengo ag’amaanyi gakikuba, era ne kitandika okumenyekamenyeka.

42Abaserikale ne bateesa batte abasibe bonna, si kulwa nga bawuga ne batuuka ku lukalu ne babomba. 43 abNaye olwokubanga Yuliyo yayagala okuwonya Pawulo, amagezi ago n’agagaana. Awo n’alagira buli muntu asobola okuwuga awuge alage ku lukalu, 44 acn’abo abatasobola kuwuga bagezeeko okweyambisa ebitundutundu by’embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo buli muntu n’atuuka bulungi ku lukalu nga taliiko kamogo.

Copyright information for LugEEEE